1 Chronicles 13:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'ayambuka e Baali ng'ali ne Yisirayeli yenna, e Kiriyati-Yewarimu ekiri mu Yuda, baggyeyo Ssanduuku ya Katonda eyitibwa erinnya 'Omukama awaŋŋamye wakati mu bakerubi'.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’Abayisirayiri bonna ne bagenda e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda okuggyayo essanduuko ya Katonda atuula ku ntebe ey’obwakabaka wakati wa bakerubi, eyitibwa erinnya lya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'agenda n'Abaisiraeri bonna e Baala, ye Kiriyasuyalimu, eky'omu Yuda, okukimayo essanduuko ey'endagaano eya Katonda, eyitibwa Erinnya lya Mukama atuula ku bakerubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agenda n'Abayisirayeli bonna e Baala, ye Kiriyati Yeyariimu, eky'omu Buyudaaya, okukimayo Essanduuko ey'Endagaano eya Katonda, eyitibwa Erinnya lya Mukama atuula ku bakerubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayambuka ne Isiraeri yenna e Baala, ye Kiriyasuyalimu, ekya Yuda, okukimayo essanduuko ya Katonda, Mukama atuula ku bakerubi, ayitibwa Erinnya lye nnyini.