1 Chronicles 13:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baggya Ssanduuku ya Katonda mu nnyumba ya Abinadabu ne bagissa ku kigaali ekipya. Wuzza ne Akiyo be baali bagoba ekigaali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya okuva mu nnyumba ya Abinadaabu, nga Uzza ne Akiyo be bagikulembera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Essanduuko ya Katonda ne bagitwalira ku kigaali ekiggya, nga bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu. Uzza ne Akiyo ne bavuga ekigaali ekyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Essanduuko ya Katonda ne bagitwalira ku kigaali ekiggya nga bagiggya mu nnyumba ya Abinadabu. Wuzza ne Ahiyo ne bavuga ekigaali ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne basitulira essanduuko ya Katonda ku ggaali eriggya, ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu; Uzza ne Akiyo ne bagoba eggaali.