1 Chronicles 13:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ne Yisirayeli yenna baali bazinira mu maaso ga Katonda n'amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ku nnanga, endongo, entongooli, obugoma, ensaazo, n'amakondeere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi ne Isirayiri yenna ne basanyuka nnyo mu maaso ga Katonda n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba nga bakuba entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa, n’ebisaala, n’amakondeere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'Abaisiraeri bonna ne bazina n'amaanyi gaabwe gonna mu maaso ga Katonda, nga bayimba era nga bakuba ennanga n'entongooli, n'ebitaasa n'ensaasi, n'amakondeere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'Abayisirayeli bonna ne bazina n'amaanyi gaabwe gonna mu maaso ga Katonda, nga bayimba era nga batakiza ennanga n'entongooli, n'ebitaasa n'ensaasi, n'amakondeere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi ne Isiraeri yenna ne bazannyira mu maaso ga Katonda n'amaanyi gaabwe gonna; nga bayimba era nga bakuba ennanga n'entongooli, n'ebitaasa n'ebisaala, n'amakondeere.