1 Chronicles 14:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti: “Nnyambuke eri Abafilisitiini? Onoobampa mu mikono gyange?” Omukama n'agamba nti: “Yambuka, kubanga nzija kukuwa Abafilisitiini mu mikono gyo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Ŋŋende ntabaale Abafirisuuti? Onoobagabula mu mukono gwange?” Mukama n’amuddamu nti, “Genda, kubanga nnaabagabula mu mukono gwo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'abuuza Katonda ng'ayogera nti Ntabaale Abafirisuuti? era onoobagabula mu mukono gwange? Mukama n'amuddamu nti Tabaala; kubanga ndibagabula mu mukono gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'abuuza Katonda nti: “ŊŊende nnumbe Abafilistiya? Ononsobozesa okubawangula?” Mukama n'amugamba nti: “Genda, nja kukusobozesa okubawangula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'abuuza Katonda ng'ayogera nti Ntabaale Abafirisuuti? era onoobagabula mu mukono gwange? Mukama n'amugamba nti Tabaala; kubanga ndibagabula mu mukono gwo.