1 Chronicles 14:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi ne basajja be n'ajja mu Baali-Perazimu n'abakubira eyo, n'agamba nti: “Ng'amazzi bwe gawaguza, n'Omukama bw'awaguzza mu balabe bange n'omukono gwange.” Ekifo ekyo kwe kuyitibwa Baali-Perazimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’ayambuka ne basajja be e Baaluperazimu, n’atabaala Abafirisuuti n’abawangula. N’ayogera nti, “Katonda awangudde abalabe bange n’omukono gwe, ng’amazzi bwe gawaguza.” Era ekifo ekyo kyekyava kituumibwa Baaluperazimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abalwanyisa, n'abawangulira e Baaluperazimu; Dawudi n'ayogera nti Katonda amenye abalabe bange n'omukono gwange ng'amazzi bwe gamenya ebbibiro. Ekifo ekyo kyebaava bakituuma erinnya Baaluperazimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abafilistiya ne bagenda e Baali-Peraziimu, Dawudi n'abawangulira eyo. N'agamba nti: “Katonda ankozesezza, n'amenya abalabe bange, ng'omujjuzo gw'amazzi bwe gumenya embibiro.” Ekifo ekyo kyebaava bakituuma Baali-Peraziimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne batabaala e Baaluperazimu, Dawudi n'abakubira eyo; Dawudi n'ayogera nti Katonda amenye abalabe bange n'omukono gwange, ng'amazzi bwe gamenyeka. Ekifo ekyo kyebaava bakituuma erinnya Baaluperazimu.