1 Chronicles 14:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini baalekayo ebifaananyi bya balubaale baabwe, Dawudi n'alagira ne byokebwa mu muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abafirisuuti baali balese awo balubaale baabwe be beekolera, Dawudi n’alagira okwokya balubaale abo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafirisuuti bwe badduka ne baleka eyo bakatonda baabwe ab'ebifaananyi; Dawudi n'alagira ne babookya omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafilistiya ne baleka awo ttayo ebifaananyi byabwe bye basinza, Dawudi n'alagira basajja be bakyokye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baleka eyo bakatonda baabwe; Dawudi n'alagira ne babookya omuliro.