1 Chronicles 14:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'onoowulira ebigere waggulu mu miti gya balusaamu, awo ng'ovaayo okulumba, kubanga Omukama ajja kubeera ng'akukulembeddemu okukuba eggye ly'Abafilisitiini.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bw’onoowulira eddoboozi ery’okukumba waggulu mu mitugunda, onootabaala, kubanga ekyo kinaategeeza nti Katonda akukulembedde okuzikiriza eggye ly’Abafirisuuti.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka olumba, kubanga nze Katonda nkukulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafirisuuti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bw'onoowulira enswagiro ku masanso g'emitugunda, n'olyoka olumba, kubanga nze Katonda nkukulembeddemu okuwangula eggye ly'Abafilistiya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuuka bw'onoowulira eddoboozi ery'okutambula ku masanso g'emitugunda, n'olyoka otabaala: kubanga Katonda atabadde okukukulembera okukuba eggye ery'Abafirisuuti.