1 Chronicles 14:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafilisitiini bwe baawulira nti Dawudi bamusiize abeere kabaka wa Yisirayeli yenna, ne bambuka bonna bamunoonye. Dawudi bwe yawulira, n'avaayo abasisinkane.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Abafirisuuti bwe baawulira nti Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka wa Isirayiri yenna, ne bambuka okugenda okumunoonya, naye Dawudi n’akiwulirako era n’agenda okubatabaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abafirisuuti bwe baawulira Dawudi ng'afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri yenna, ne bambuka okumuwamba: Dawudi bwe yakiwulira n'agenda abalwanyise.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafilistiya bwe baawulira nga Dawudi asiigiddwako omuzigo okuba kabaka wa Yisirayeli yonna, ne bakuŋŋaana bonna ne bagenda bamunoonye. Dawudi bwe yakiwulira, n'agenda okubalwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abafirisuuti bwe baawulira Dawudi ng'afukiddwako amafuta okuba kabaka wa Isiraeri yenna, Abafirisuuti bonna ne bambuka okunoonya Dawudi: Dawudi n'akiwulira, n'abatabaala.