1 Chronicles 15:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi bwe yamala okwezimbira amayumba mu Kibuga kya Dawudi, Ssanduuku ya Katonda n'agitegekera ekifo, n'agisimbira weema.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi bwe yamala okwezimbira embiri ze mu kibuga kya Dawudi, n’ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n’agikubira eweema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi ne yeezimbira amayumba mu kibuga kya Dawudi: n'ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n'agisimbira eweema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi ne yeezimbira amayumba mu kibuga ekiyitibwa ekya Dawudi. N'ategekera Essanduuko ya Katonda ekifo, n'agisimbira eweema.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi ne yeezimbira ennyumba mu kibuga kya Dawudi: n'ategekera essanduuko ya Katonda ekifo, n'agikubira eweema.