1 Chronicles 15:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mmwe Abaleevi temwagiggyayo mu kusooka, Omukama Katonda wa Yisirayeli kyeyava atusitukiramu, kubanga tetwamwebuuzaako ku ngeri gye twali tuteekwa okukikolamu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mmwe temwagisitula omulundi ogwasooka Mukama Katonda waffe kyeyava atusunguwalira, olw’obutamwebuuzaako okutegeera nga bwe kyalagibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku mulundi ogwasooka si mwe mwagisitula Mukama Katonda waffe kyeyava atusunguwalira n'atubonereza kubanga tetwakola nga ebiragiro bye bwe biri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga si mmwe mwagisitula ku mulundi ogwasooka, Mukama Katonda waffe kyeyava atubonereza mu busungu n'obukambwe, olw'obutakola nga bwe yalagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga temwasooka kugisitula, Mukama Katonda waffe kyeyava atuwamatukira, kubanga tetwamunoonya neekiragiro bwe kyali.