1 Chronicles 15:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yasaba abakulu b'Abaleevi mu baganda baabwe balondemu abayimbi bayimbire ku bivuga: entongooli, ennanga n'ensaazo, nga bakooloobya n'essanyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’alagira abakulembeze b’Abaleevi okulonda baganda baabwe okuba abayimbi, nga bayimba ennyimba ez’essanyu, nga bakuba ebivuga: entongooli, n’ennanga, n’ebitaasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba Abaleevi abakulu balonde baganda baabwe abayimbi, nga balina ebivuga, entongooli n'ennanga n'ebitaasa, nga babikuba era nga bayimba nnyo n'essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'alagira abakulu b'Abaleevi okuteekawo baganda baabwe abayimbi, bayimbe era bakube ebivuga eby'entongooli n'ennanga n'ebitaasa mu ddoboozi ery'essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'agamba Abaleevi abakulu okulonda baganda baabwe abayimbi, nga balina ebivuga, entongooli n'ennanga n'ebitaasa, nga babikuba era nga bayimusa eddoboozi n'essanyu,