1 Chronicles 15:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi ne balonda: Emani mutabani wa Yoweli; ne mu baganda be: Asafu mutabani wa Berekiya; okuva mu baganda baabwe ab'omu bazzukulu b'Abamerari: Etani mutabani wa Kusaaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri, ku baganda be ne balonda Asafu mutabani wa Berekiya, ne ku batabani ba Merali, baganda baabwe, ne balonda Esani mutabani wa Kusaya;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri; ne ku baganda be, ne Asafu mutabani wa Berekiya n'omu ku baganda be. Ku b'ennyumba ya Merali ne balondayo Esani mutabani wa Kusaya omu ku baganda baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abaleevi ne balonda Hemani mutabani wa Yoweeli, n'omu ku baganda be: Asafu mutabani wa Berekiya, ne Etani mutabani wa Husaayi omu ku baganda baabwe ab'omu lulyo lwa Merari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Abaleevi ne balonda Kemani mutabani wa Yoweeri; ne ku baganda be, Asafu mutabani wa Berekiya; ne ku batabani ba Merali baganda baabwe, Esani mutabani wa Kusaya;