1 Chronicles 15:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayimbi Emani, Asafu ne Etani be baali ab'okukuba ensaazo ez'ekikomo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne Kemani, ne Asafu, ne Esani abayimbi abaalina okukuba ebitaasa eby’ebikomo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abayimbi, Kemani, Asafu, ne Esani ne balondebwa okukuba ebitaasa eby'ebikomo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayimbi Hemani, Asafu, ne Etani, ne bateekebwawo okukuba ebitaasa eby'ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abayimbi, Kemani, Asafu, ne Esani, ne balondebwa, nga balina ebitaasa eby'ebikomo okuvuga;