1 Chronicles 15:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi n'agamba nti: “Ssanduuku y'Omukama si ya kwetikkibwanga buli asanga, wabula Baleevi bokka Omukama be yalonda okugitwala n'okumuweereza emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’ayogera nti, “Tewali muntu yenna akkirizibwa kusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi, kubanga Mukama be yalonda okugisitula, era n’okumuweerezanga ennaku zonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'agamba nti Si kirungi omuntu atali mu Leevi okusitula essanduuko ya Katonda kubanga Abaleevi: kubanga abo Mukama be yalonda okusitulanga essanduuko ya Katonda, n'okumuweerezanga ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'agamba nti: “Tewali balala banaasitula Ssanduuko ya Katonda, wabula Abaleevi, kubanga abo Mukama be yalonda okugisitulanga n'okugirabiriranga ennaku zonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'ayogera nti Si kirungi omuntu yenna okusitula essanduuko ya Katonda wabula Abaleevi: kubanga abo Mukama be yalonda okusitulanga essanduuko ya Katonda, n'okumuweerezanga ennaku zonna.