1 Chronicles 15:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kenaniya omukulu w'Abaleevi abayimbi ye yalabiriranga eby'okuyimba kubanga yali muyimbi mukugu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kenaniya omukulembeze w’Abaleevi mu by’okuyimba, avunaanyizibwe eby’okuyimba kubanga yali mukugu mu byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kenaniya omukulu w'Abaleevi ye yalondebwa okulabirira okuyimba n'okuyigirizanga okuyimba kubanga yali mukugu mu kuyimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kenaniya omukulu w'Abaleevi, nga bwe yali omukugu mu by'ennyimba, ye yakuliranga era ye yayigirizanga eby'ennyimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Kenaniya omukulu w'Abaleevi ye yalabiriranga okuyimba: ye yayigirizanga eby'okuyimba kubanga mutegeevu.