1 Chronicles 15:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona Sebaniya, Yosafati, Netaneli, Amasayi, Zakariya Benaaya ne Eliyezeri baali bakufuuwa makondeere mu maaso g'Essanduuku ya Katonda; Obedi-Edomu ne Yekiya bo baali baggazi ba Ssanduuku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sebaniya, ne Yosafaati, ne Nesaneri, ne Amasayi, ne Zekkaliya, ne Benaya, ne Eryeza be bakabona abaafuuwanga amakondeere mu maaso g’essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yekiya n’abo baali baggazi b’omulyango gw’ekifo essanduuko mw’ebeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona Sebaniya, Yosafaati, Nesaneeri, Amasayi, Zekkaliya, Benaya ne Eryeza be baalondebwa okufuuwa amakkondeere mu maaso g'essanduuko ya Katonda nga bali wamu ne Obededomu ne Yekiya abaggazi abakuuma essanduuko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sebaniya ne Yosafaati ne Netaneeli, ne Amasaayi, ne Zekariya ne Benaaya ne Eliyezeeri bakabona, be baafuuwanga amakondeere mu maaso g'Essanduuko ya Katonda. Obededomu ne Yehiya nabo baali baggazi abaakuumanga Essanduuko eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Sebaniya ne Yosafaati ne Nesaneri ne Amasayi ne Zekkaliya ne Benaya ne Eryeza bakabona be baafuuwanga amakondeere mu maaso g'essanduuko ya Katonda: ne Obededomu ne Yekiya be baali abaggazi ab'oku ssanduuko.