1 Chronicles 15:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Dawudi, abakadde mu Yisirayeli n'abagabe b'ebibinja ne bagenda okuggyayo Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama, okugiggya mu nnyumba ya Obedi-Edomu mu ssanyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’abakadde aba Isirayiri, n’abaduumizi b’enkumi ne bagenda okwambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu nga basanyuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'abakadde ba Isiraeri n'abaami b'enkumi ne bagenda okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu n'essanyu:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Dawudi, n'abakulembeze mu Yisirayeli, n'abakulira olukumi lukumi, ne bagenda n'essanyu okukima Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, nga bagiggya mu nnyumba ya Obededomu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'abakadde ba Isiraeri n'abaami b'enkumi ne bagenda okulinuyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama okugiggya mu nnyumba ya Obededomu n'essanyu: