1 Chronicles 15:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Katonda yayamba Abaleevi abaali batwala Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama, ne batambira ente ennume musanvu n'endiga ennume musanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubeera Katonda kwe yabeera Abaleevi abaali basitudde essanduuko ey’endagaano ya Mukama, baawaayo sseddume z’ente musanvu ne z’endiga musanvu nga ssaddaaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo Abaleevi bwe baalaba nga Katonda abasobozeseza okusitula essanduuko ey'endagaano eya Mukama, ne bawaayo saddaaka ey'ente musanvu n'embuzi ennume musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bawaayo ekitambiro ky'ente ennume musanvu ne sseddume z'endiga musanvu, nga Katonda asobozesezza Abaleevi okusitula Essanduuko ye ey'Endagaano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olwatuuka Katonda bwe yayamba Abaleevi abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama, ne bawaayo ente musanvu n'embuzi ennume musanvu.