1 Chronicles 15:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yali ayambadde ekkanzu ey'obufumbo, n'Abaleevi bonna abaali batwala Ssanduuku, n'abayimbi ne Kenaniya eyali akulira eby'okuyimba, bonna nga bambadde nga ye. Dawudi yali ayambadde efodi ey'olugoye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi yali ayambadde olugoye olwa linena, ng’Abaleevi bonna abaali basitudde essanduuko, era ng’abayimbi ne Kenaniya eyali avunaanyizibwa okuyimba. Dawudi yali ayambadde n’ekkanzu eya linena.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'ayambala omunagiro ogwa bafuta ennungi, n'Abaleevi bonna abaasitula essanduuko n'abayimbi ne Kenaniya omukulu w'abayimbi nga bwe batyo bwe bambadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'ayambala omunagiro ogw'olugoye olweru olulungi ennyo, era n'abayimbi ne Kenaniya omukulembeze waabwe, n'Abaleevi bonna abaasitula Essanduuko ey'Endagaano, ne bambala bwe batyo. Era Dawudi yali ayambadde n'ekkanzu ey'olugoye olweru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayambala omunagiro ogwa bafuta ennungi, n'Abaleevi bonna abaasitula essanduuko n'abayimbi ne Kenaniya omukulu w'okuyimba wamu n'abayimbi: era Dawudi yali ayambadde ekkanzu eya bafuta,