1 Chronicles 15:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yenna n'aleeta Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama n'obuluulu n'amaloboozi ag'eŋŋombe, amakondeere, ensaazo, n'okuvuga kw'entongooli n'ennanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Isirayiri yenna ne bambusa essanduuko ey’endagaano ya Mukama nga baleekaana n’amaloboozi ag’essanyu, n’eddoboozi ery’eŋŋombe, ery’amakondeere, n’ebitaasa, era nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo Abaisiraeri ne batwala essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga bayimbira waggulu n'essanyu nga bwe bafuuwa eŋŋombe n'amakondeere era nga bwe bakuba ebitaasa, entongooli n'ennanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo Abayisirayeli bonna ne baleeta Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama nga baleekaana n'amaloboozi ag'essanyu, nga bafuuwa eŋŋombe n'amakondeere, era nga bakuba nnyo ebitaasa ebisaala, n'entongooli n'ennanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo Isiraeri yenna ne balinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'okwogerera waggulu n'eddoboozi ery'eŋŋombe n'amakondeere n'ebisaala nga bakuba nnyo entongooli n'ennanga.