1 Chronicles 15:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama bwe yali eyingira mu Kibuga kya Dawudi, Mikali, muwala wa Sawulo, n'atunula wansi ng'ayima mu ddirisa n'alaba kabaka Dawudi nga yeebuukiza, azina, n'amunyooma mu mutima gwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo essanduuko ey’endagaano ya Mukama bwe yali ng’eyingizibwa mu kibuga kya Dawudi, Makali muwala wa Sawulo n’alingiza mu ddirisa, n’alaba Kabaka Dawudi ng’azina era ng’ajjaguza, n’amunyooma mu mutima gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yali ng'ejja mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'azina era nga bwabuuka; n'amunyooma mu mutima gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama bwe yali ng'etuuka mu Kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba Kabaka Dawudi ng'azina era nga abuuka olw'essanyu, n'amunyooma mu mutima gwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe yali ng'ejja mu kibuga kya Dawudi, Mikali muwala wa Sawulo n'alingiza mu ddirisa, n'alaba kabaka Dawudi ng'azina era ng'azannya; n'amunyooma mu mutima gwe.