1 Chronicles 16:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo buli omu mu Yisirayeli, omusajja n'omukazi, n'amuwa omugaati ogw'oluwewere n'ekitole ky'empirivuma, n'ekitole ky'emizabbibu emiwotose. Emirimu gy'Abaleevi mu maaso g'Essanduuku
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’agabira buli Muyisirayiri omusajja n’omukazi, omugaati n’ekitole eky’ezabbibu enkalu, n’ekiyungula ky’ennyama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agabira buli muntu mu Isiraeri, abasajja n'abakazi omugabo; omugaati, ennyama n'ekitole eky'ezabbibu ekikalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agabula abantu bonna ebyokulya. N'awa buli musajja na buli mukazi mu Yisirayeli, omugaati n'ekifi ky'ennyama, n'ekitole ky'emizabbibu egikaziddwa ne gisekulibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agabira buli muntu mu Isiraeri, abasajja era n'abakazi, buli muntu omugaati n'omugabo ogw'ennyama n'ekitole eky'ezabbibu enkalu.