1 Chronicles 16:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe emirembe n'emirembe.” Abantu bonna ne bagamba nti: “Amiina, Omukama atenderezebwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isirayiri ow’emirembe n’emirembe. Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina, Mukama yeebazibwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Awo abantu bonna ne baddamu nti, Amiina, ne batendereza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe kaakano n'emirembe gyonna. Awo abantu bonna ne bagamba nti: “Kibe bwe kityo!” Ne batendereza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yeebazibwe Mukama, Katonda wa Isiraeri, Okuva mu mirembe gyonna okutuuka mu mirembe gyonna. Awo abantu bonna ne boogera nti Amiina, ne batendereza Mukama.