1 Chronicles 16:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yaleka Asafu ne baganda be mu maaso g'Essanduuku y'Endagaano y'Omukama baweerezenga ebbanga lyonna mu maaso g'Essanduuku okusinziira ku mikolo egyabangawo buli lunaku.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi n’aleka Asafu n’ababeezi be, okuweereza Mukama mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama, nga bwe kyagwaniranga buli lunaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Dawudi n'alekawo Asafu ne baganda be, bakolanga omulimu gw'obuweereza mu maaso g'essanduuko y'endagaano ya Mukama, nga bwe kyabanga kyetaagisa buli lunaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Dawudi n'alekawo Asafu ne baganda be, bakolenga omulimu gw'obuweereza mu maaso g'Essanduuko y'Endagaano ya Mukama, nga bwe kyabanga kyetaagisa buli lunaku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aleka eyo mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama Asafu ne baganda be, okuweererezanga mu maaso g'essanduuko obutayosangawo, ng'omulimu ogwa buli lunaku bwe gwayagalanga: