1 Chronicles 16:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaleka ne Obedi-Edomu ne baganda be enkaaga mu omunaana baweerezenga nabo. Yedutuni mutabani wa Obedi-Edomu ne Kosa baali ba kukola gwa buggazi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obededomu n’ababeezi be enkaaga mu omunaana nabo yabaleka baweereze eyo. Obededomu mutabani wa Yedusuni, era ne Kosa be baali abaggazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'alekawo ne Obededomu mutabani wa Yedusuni ne Kosa n'Abaleevi bannaabwe nkaaga mu munaana (68) okuba abaggazi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'alekawo ne Obededomu mutabani wa Yedutuuni, ne Hosa ne Baleevi bannaabwe nkaaga mu munaana, okuba abaggazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Obededomu ne baganda baabwe, nkaaga mu munaana; era ne Obededomu mutabani wa Yedusuni ne Kosa okuba abaggazi;