1 Chronicles 16:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yaleka Zadoki kabona ne baganda be bakabona mu maaso g'Ekisulo ky'Omukama ekyali mu kifo ekigulumivu mu Gibewoni,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi yaleka Zadooki, kabona ne bakabona banne mu maaso g’eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu e Gibyoni
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ateekawo Zadoki ne bakabona banne mu weema ya Mukama e Gibyoni mu kifo ekigulumivu eky'e Gibyoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ateekawo Zaddooki kabona ne bakabona banne mu Weema ya Mukama eyali e Gibiyoni mu kifo ekigulumivu kye baasinzizangamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Zadoki kabona, ne baganda be bakabona, mu maaso g'eweema ya Mukama mu kifo ekigulumivu ekyali e Gibyoni,