1 Chronicles 16:40 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
baweerezenga obutasalako Omukama ebitambiro ebyokye ku mwaliiro gw'ebitambiro ebyokye, ku makya n'akawungeezi, nga bagoberera ebyawandiikibwa mu tteeka ly'Omukama lye yawa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa, buli nkya na buli kawungeezi, nga byonna bwe byawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yawa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okuweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa obutayosa enkya n'akawungeezi, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yalagira Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ku makya n'akawungeezi obutasalako, baweerengayo eri Mukama ku alutaari ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, nga bagoberera byonna ebyawandiikibwa mu Mateeka ga Mukama, ge yawa Eggwanga lya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ku kyoto eky'ebiweebwayo ebyokebwa obutayosa enkya n'akawungeezi, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama, ge yalagira Isiraeri;