1 Chronicles 16:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku abo yagattako Emani ne Yedutuni, n'abalala abalondemu linnya ku linnya, bagulumize Omukama “kubanga ekisa kye kya mirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kemani ne Yedusuni n’abalala abaalondebwa ne bayitibwa amannya gaabwe okwebaza Mukama, “kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna,” baali wamu nabo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awamu n'abo n'ateekawo ne Kemani ne Yedusuni, n'abalala abaalondebwa, abaayawuddwa amannya gaabwe, okwebazanga Mukama olw'ekisa kye, kubanga kibeerawo emirembe gyonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awamu nabo, n'ateekawo ne Hemani ne Yedutuuni n'abalala abaalondebwa, abayatuddwa amannya gaabwe, okwebazanga Mukama olw'ekisa kye, kubanga kibeerawo emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era wamu nabo Kemani ne Yedusuni, n'abalala abaalondebwa, abaayatulwa amannya gaabwe, okwebaza Mukama kubanga okusaasira kwe (kubeerera) emirembe gyonna;