1 Chronicles 16:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Asafu ye yali abakulira, owookubiri Zakariya, ssaako Yeyeli, Semiramoti, Yekiyeli, Mattitiya, Eliyabu, Benaaya, Obedi-Edomu ne Yeyeli. Be baali ab'okusuna entongooli n'ennanga, Asafu nga wa kukuba nsaazo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Asafu ye yali omukulu waabwe, Zekkaliya n’amuddirira, Yeyeeri n’addako, n’oluvannyuma Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeri, abookukuba entongooli n’ennanga, Asafu ye ng’akuba ebitaasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asafu ye yalondebwa okuba omukulu, ng'addirirwa Zekkaliya, Yeyeeri, Semiramoosi, Yekyeri, Mattisiya, Eriyaabu, Benaya, Obededomu ne Yeyeeri, be baali abakubi b'entongooli n'ennanga. Asafu ye yakubanga ebitaasa ebivuga ennyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Asafu ye yalondebwa okuba omukulu, ng'addirirwa Zekariya. Yeyeli ne Semiramoti ne Yehiyeeli, ne Mattitiya, ne Eliyaabu, ne Benaaya, ne Obededomu ne Yeyeli, be baali abakubi b'entongooli n'ennanga. Asafu ye yakubanga ebitaasa ebivuga ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asafu omukulu, addirira Zekkaliya, Yeyeeri, ne Semiramosi, ne Yekyeri, ne Mattisiya, ne Eriyaabu, ne Benaya, ne Obededomu, ne Yeyeeri, nga balina entongooli n'ennanga; ne Asafu ng'alina ebitaasa nga bivuga nnyo;