1 Chronicles 16:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Benaaya ne Yakaziyeli bakabona nga ba kufuuwanga amakondeere obudde bwonna mu maaso ga Ssanduuku y'Endagaano ya Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Benaya ne Yakaziyeeri bakabona be baafuuwanga amakondeere bulijjo mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona babiri Benaya ne Yakaziyeeri be bafuuwanga bulijjo amakkondeere mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona babiri Benaaya ne Yahaziyeeli be baafuuwanga bulijjo amakondeere mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano ya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne Benaya ne Yakaziyeeri bakabona nga balina amakondeere ennaku zonna mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Katonda.