1 Chronicles 17:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka bwe yamala okukkalira mu lubiri lwe, n'agamba Natani omulanzi nti: “Laba nze nsula mu nnyumba ya miti gya ntolookyo, sso nga yo Ssanduuku y'Omukama ebeera mu weema buweema.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Dawudi ng’amaze okukkalira mu nnyumba ye mu lubiri, n’agamba nnabbi Nasani nti, “Teebereza, nze mbeera mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye nga essanduuko ey’endagaano ya Mukama ebeera mu weema.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka Dawudi bwe yali mu nnyumba ye, n'agamba Nasani nnabbi nti Laba, nze mbeera mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ey'endagaano ya Mukama eri mu weema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo olwatuuka, Kabaka Dawudi bwe yamala okukkalira mu lubiri lwe, n'agamba Natani omulanzi nti: “Laba nze nsula mu nnyumba eŋŋumu era eyeekitiibwa, naye Essanduuko ya Mukama ebeera mu weema buweema.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Dawudi bwe yabeera mu nnyumba ye, Dawudi n'agamba Nasani nabbi nti Laba, nze mbeera mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ey'endagaano ya Mukama ebeera wansi w'ebitimbe.