1 Chronicles 17:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
era nga bwe babadde bakola okuva mu nnaku lwe nassaawo abalamuzi ku bantu bange Yisirayeli. Nzija kufufuggaza abalabe bo bonna. Nkutegeeza nti: Omukama ajja kukuzimbira ennyumba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nga bwe bakola kati kasookedde nnonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi okuba omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. Ndikuwa obuwanguzi eri abalabe bo bonna. “ ‘Nkirangirira gy’oli kaakano nti Mukama alikuzimbira ennyumba:
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era (nga bwe kyali) okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndiwangula abalabe bo bonna. Era nkugamba nga Mukama alikuzimbira ennyumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
we nateekerawo abalamuzi okufuganga abantu bange Abayisirayeli. Era ndiwangula abalabe bo bonna. N'ekirala nze Mukama nkugamba nti ndikwaliza ezzadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era (nga bwe kyali) okuva ku lunaku lwe nnalagira abalamuzi okufuga abantu bange Isiraeri; era ndiwangula abalabe bo bonna. Era nkugamba nga Mukama alikuzimbira ennyumba.