1 Chronicles 17:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku zo bwe ziriba zituuse, n'ogenda obeere ne bajjajjaabo, ndisitusaawo ezzadde lyo eririkusikira, omu ku batabani bo; ndinyweza obwakabaka bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennaku zo bwe zirituuka, era n’ogenda okubeera ne bajjajjaabo, ndiyimusa ezzadde lyo okuba obusika bwo, omu ku batabani bo ddala, era ndinyweza obwakabaka bwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku zo bwe ziriggwako n'ogenda eri bajjajja bo, omu ku batabani bo, ndimussaawo okuba kabaka, era ndinyweza obwakabaka bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennaku zo bwe ziriggwaako n'ogenda eri bajjajjaabo, omu ku batabani bo, ndimussaawo okuba kabaka, era ndinyweza obwakabaka bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka, ennaku zo bwe zirituukirira, n'ogwana okugenda okubeera awamu ne bajjajja bo, ne ndyoka nnyimiriza ezzadde lyo eririddawo oluvannyuma lwo, eririva mu batabani bo; era ndinyweza obwakabaka bwe: