1 Chronicles 17:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndiba kitaawe, naye alibeera mwana wange; sigenda kumuggyako kisa kyange nga bwe nakiggya ku oyo eyakukulembera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndiba kitaawe, naye aliba mwana wange, era sirimukyawa, nga bwe nakyawa oyo eyakusooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze n'abeeranga kitaawe, naye anaabanga mwana wange: so siimuggyengako kusaasira kwange, nga bwe nnakuggya ku oyo eyakusooka:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ndiba kitaawe, ye n'aba mwana wange. Siirekengayo kumukwatirwa kisa, nga bwe nalekayo okukikwatirwa oyo eyakusooka okuba kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nze naaberanga kitaawe, naye anaabanga mwana wange; so siimuggyengako kusaasira kwange, nga bwe nnakuggya ku oyo ayakusooka: