1 Chronicles 17:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi akyalinayo ki ekirala ky'anaakugamba olw'okugulumiza omuweereza wo? Anti omuweereza wo omumanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Dawudi ayinza kwongerako ki ku ebyo okumuwa ekitiibwa bwe kityo, kubanga ggwe omanyi omuddu wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ate kiki ekirala nze Dawudi omuddu wo ky'enyinza okukugamba olw'ekitiibwa ky'onzisizaamu! Kubanga ggwe omanyi omuddu wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kiki ate ekirala nze Dawudi omuweereza wo, kye nnyinza okukugamba olw'ekitiibwa ky'onzisizzaamu? Kubanga ommanyi nze omuweereza wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kiki Dawudi ky'ayinza okweyongera nate okugamba olw'ekitiibwa omuddu wo ky'assibwamu? kubanga ggwe omanyi omuddu wo.