1 Chronicles 17:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Mukama, ku lw'omuweereza wo, ng'ogoberera omutima gwo, okoze ekintu kino kyonna ekikulu ate n'omanyisa na byonna ebikulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’omuddu wo Ayi Mukama Katonda, n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, era n’osuubiza ebintu ebyo byonna ebikulu bwe bityo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama okoledde omuddu wo ebintu bino byonna ebikulu n'obimanyisa nga ggwe bw'oyagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, onkoledde ebintu bino byonna ebikulu nga Ggwe weeyagalidde, n'ommanyisa ebintu ebyo byonna ebikulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama, ku lw'omuddu wo era ng'omutima gwo ggwe bwe guli, bw'otyo bw'oleese obukulu buno bwonna, okumanyisa ebikulu (bino) byonna.