1 Chronicles 17:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwanga liruwa eriri ng'abantu bo Yisirayeli: eggwanga lyokka mu nsi Katonda waalyo lye yagenda anunule babe abantu be, wessizeewo erinnya, okole ebinene, eby'entiisa, ng'ogobawo amawanga mu maaso g'abantu bo be weenunulira mu Misiri?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye wanunula ggwe kennyini, ne weekolera erinnya, era n’okola ebikolwa eby’amaanyi, n’ebyewunyisa bwe wagoba amawanga okuva mu maaso g’abantu bo, be wanunula okuva mu Misiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ggwanga ki erimu eriri mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, ggwe Katonda be wagenda n'ob'enunulira okuba eggwanga, okwefunira erinnya n'ebigambo eby'entiisa ng'ogoba amawanga mu maaso g'abantu bo, be wanunula ng'obaggya e Misiri?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ggwanga ki eddala eriri ku nsi, eriri ng'ery'abantu bo Abayisirayeli, Ggwe Katonda be wagenda okwenunulira okuba eggwanga eriryo ku bubwo! Ebintu ebikulu era eby'entiisa bye wabakolera, byayatiikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala, ne basegulira abantu bo, be wanunula n'obaggya mu Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ggwanga ki erimu eriri mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, Katonda be yagenda okwenunulira okuba eggwanga, okwefunira erinnya n'ebigambo ebikulu eby'entiisa, ng'ogoba amawanga mu maaso g'abantu bo, be wanunula okubaggya mu Misiri?