1 Chronicles 17:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno, ayi Mukama, ekigambo ky'oyogedde ku muweereza wo ne ku nnyumba ye kinyweze emirembe gyonna; kola nga bw'osuubizza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye kinywezebwe emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, ayi Mukama, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinywezebwenga emirembe gyonna, era okolanga nga bw'oyogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno, ayi Mukama, nywezanga ennaku zonna ky'osuubizza nze omuweereza wo n'ab'ennyumba yange, era okole nga bw'ogambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, ai Mukama, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinywezebwenga emirembe gyonna, era okolonga nga bw'oyogedde.