1 Chronicles 17:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kiryoke kinywere, olwo n'erinnya lyo lirigulumizibwa emirembe gyonna, n'abantu baligamba nti: ‘Omukama w'Amagye ye Katonda wa Yisirayeli, Katonda ku lwa Yisirayeli’ n'ennyumba y'omuweereza wo Dawudi erinywera mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kola nga bwe wasuubiza, erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, Mukama ow’Eggye, Katonda afuga Isirayiri, ye Katonda wa Isirayiri! Era ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'erinnya lyo linywezebwenga ligulumizibwenga emirembe gyonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda wa Isiraeri, Katonda eri Isiraeri: era ennyumba ya Dawudi omuddu wo enywezebwa mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kinywezebwe, olyoke ogulumizibwenga emirembe gyonna, nga bagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye, ye Katonda wa Yisirayeli era ye alabirira Yisirayeli!’ Era onyweze mu maaso go ab'ennyumba yange, nze Dawudi omuweereza wo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'erinnya lyo, linywezebwenga ligulumizibwenga emirembe gyonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda wa Isiraeri, Katonda eri Isiraeri: era ennyumba ya Dawudi omuddu wo enywezebwa mu maaso go.