1 Chronicles 17:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti, Katonda wange, kino okibikkulidde omuweereza wo nti olimuzimbira ennyumba, omuweereza wo kyavudde azuula amaanyi okwegayirira mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ayi Katonda wange, wakibikulidde omuddu wo nti olimuzimbira ennyumba, era omuddu wo kyavudde ajja okukwebaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ggwe, ayi Katonda wange, obikkulidde omuddu wo ng'olimuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde afuna amaanyi ag'okusaba mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda wange, nze omuwereza wo ŋŋumye okwegayirira bwe ntyo mu maaso go, kubanga ombikkulidde nze omuweereza wo, ng'ab'ennyumba yange olibafuula bakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ggwe, ai Katonda wange, obikkulidde omuddu wo ng'olimuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde alaba okusaba mu maaso go.