1 Chronicles 17:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno okkirizza okuwa omukisa ennyumba y'omuweereza wo, bulijjo ebeere mu maaso go, kubanga ggwe, ayi Mukama, ogiwadde omukisa, bw'etyo eriweebwa omukisa emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano osiimye okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa, ebeerewo emirembe gyonna mu maaso go kubanga, ggwe Ayi Mukama Katonda ogiwadde omukisa, era egya kuba ya mukisa emirembe gyonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era kaakano osiimye okuwa omukisa ennyumba y'omuddu wo, ebeerere mu maaso go emirembe gyonna: kubanga ggwe, ayi Mukama, owadde omukisa, era eweereddwa omukisa emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano osiimye okuwa omukisa ab'ennyumba yange nze omuweereza wo, beeyongere okuganja mu maaso go ennaku zonna, kubanga Ggwe, ayi Mukama, obawadde omukisa, era gubaweereddwa emirembe gyonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era kaakano osiimye okuwa omukisa ennyumba y'omuddu wo, ebeerere mu maaso go emirembe gyonna: kubanga ggwe, ai Mukama, owadde omukisa, era eweereddwa omukisa emirembe gyonna.