1 Chronicles 17:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sisulanga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero; mbadde nva mu weema eno ne nzira mu eri, ne mu kisulo kino ne nzira mu kiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sibeeranga mu nnyumba kasookedde nzija Isirayiri mu Misiri, okutuusa ku lunaku lwa leero. Nvudde mu weema emu ne nzira mu ndala, ne nva mu kifo ekimu ne nzira mu kirala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga sibeeranga mu nnyumba okuviira ku lunaku lwe nnaggya aba Isiraeri mu Misiri n'okutuusa leero, wabula n'abeeranga mu weema, era n'avanga mu kifo ekimu, ne nzira mu kifo ekirala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga sibeerangako mu nnyumba okuviira ddala ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu Misiri n'okutuusa leero, wabula nabeeranga mu weema, era navanga mu kifo ekimu, ne nzira mu kifo ekirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe nnalinnyisa Isiraeri ne leero; naye navanga mu weema ne mbeera mu weema, era navanga mu nsiisira ne mbeera mu nsiisira endala.