1 Chronicles 17:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bifo byonna mwe nayita n'Abayisirayeli bonna, nali njogedde n'omu ku balamuzi ba Yisirayeli be nalagira balunde abantu bange Yisirayeli, ne ŋŋamba nti: “Lwaki temwanzimbira nnyumba ya ntolookyo?” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bifo byonna bye ntambuddemu ne Isirayiri yenna, nnina kye nnali ŋŋambye omulamuzi wa Isirayiri, kw’abo be nalagira okukulembera abantu bange nti, “Kiki ekibalobedde, okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu bifo byonna gye nnaakatambula ne Isiraeri yenna nali njogedde ekigambo n'omulamuzi yenna ku balamuzi ba Isiraeri, be nnalagira okuliisa abantu bange, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bifo byonna gye natambulira n'Abayisirayeli bonna, ku bakulembeze be nateekawo okulabirira abantu bange, saabuuzaako n'omu nti lwaki temunzimbira nnyumba eŋŋumu era eyeekitiibwa?’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu bifo byonna gye nnaakatambula ne Isiraeri yenna nali njogedde ekigambo n'omulamuzi yenna ku balamuzi ba Isiraeri, be nnalagira okuliisa abantu bange, nga njogera nti Kiki ekyabalobera okunzimbira ennyumba ey'emivule?