1 Chronicles 17:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti: ‘Kino ky'agamba Omukama w'Amagye: Nakuggya mu malundiro, mu kulunda ndiga, olyoke obeere omukulembeze w'abantu bange Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano nno tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’eggye nti, nakuggya ku ttale ng’olunda ndiga, ne nkufuula omukulembeze ow’abantu bange Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno bw'otyo bw'onoogamba omuddu wange Dawudi, nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nnakuggya ku kisibo ky'endiga, okugoberera endiga, obeere omulangira w'abantu bange Isiraeri:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama era n'agamba Natani nti: “Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti Nze Mukama Nnannyinimagye mmugamba nti: ‘Nakuggya ku gw'okulundanga endiga mu ttale, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno bw'otyo bw'onoogamba omuddu wange Dawudi, nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nakuggya ku kisibo ky'endiga, okugoberera endiga, obeere omulangira w'abantu bange Isiraeri: