1 Chronicles 17:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonna gy'oyise mbadde naawe, ne nkusalako abalabe bo bonna mu maaso go. Kati erinnya lyo nzija kulifuula tutumufu okwenkana ery'abo abatutumufu mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja abamanyiddwa mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'abeeranga naawe buli gye wagendanga, ne mmalawo abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya okufaanana erinnya ly'abakulu abali mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nabeeranga naawe buli gye wagendanga yonna, ne mmalawo abalabe bo ng'olaba. Era ndikufuula wa ttutumu ng'abafuzi abatutumufu ennyo mu nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nabeeranga naawe buli gye wagendanga, ne mmalawo abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya okufaanana erinnya ly'abakulu abali mu nsi.