1 Chronicles 17:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzija kukolera abantu bange Yisirayeli ekifo, mbasse omwo, babeerenga omwo, nga tebakyaddayo kutawaanyizibwa. Ababi tebaliddayo kubabonyaabonya nga bwe baakola mu masooka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era abantu bange Isirayiri ndibawa ekifo, kibeere ekifo kyabwe eky’olubeerera, nga tebatawanyizibwa, n’abantu ababi tebalibacocca, nga bwe baakolanga olubereberye,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ndibateekerawo ekifo abantu bange Isiraeri, era ndibasimba babeere mu kifo kyabwe bo, baleme okujjulukuka nate; so n'abaana b'obubi tebaabazikirizenga nate, ng'olubereberye,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nditegekera abantu bange Abayisirayeli ekifo, ne mbateekamu, babeerenga omwo nga kyabwe, balemenga kuddamu kutawaanyizibwa, era abantu ababi nga tebakyababonyaabonya, nga bwe gwali
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ndibateekerawo ekifo abantu bange Isiraeri, era ndibasimba babeere mu kifo kyabwe bo, baleme okujjulukuka nate; so n'abaana b'obubi tebaabazikirizenga nate, ng'olubereberye,