1 Chronicles 18:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, Dawudi yawangula Abafilisitiini n'abafufuggaliza ddala. N'aggya mu mikono gy'Abafilisitiini Gati n'ebyalo ebikyetoolodde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, era n’awamba ne Gaasi n’ebyalo ebyali bikyetoolodde okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma lw'ebyo, Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula, n'awamba Gaasi n'ebyalo byako okuva ku Bafirisuuti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Kabaka Dawudi n'alwanyisa Abafilistiya n'abawangula, n'aggya mu mikono gyabwe Ekibuga Gaati n'obubuga obukyetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lw'ebyo olwatuuka Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula, n'aggya Gaasi n'ebyalo byako mu mukono gw'Abafirisuuti.