1 Chronicles 18:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'atuma mutabani we Adoramu ewa kabaka Dawudi, amulamuseeko era amukulise okulwanyisa Adadeezeri n'amuwangula, kubanga Adadeezeri yalinga alwanagana ne Towu. Adoramu n'atwala ebintu byonna ebya ffeeza, ebya zaabu n'eby'ekikomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’atuma mutabani we Kadolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri, kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toowu. Kadolaamu yaleeta zaabu, n’effeeza, n’ebikomo, nga bya ngeri za ngyawulo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atuma Kadolamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza kubanga alwanye ne Kadalezeri n'amuwangula anti Kadalezeri yali amumazeeko ebintu ebya zaabu n'effeeza n'ebikomo ebya buli ngeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'atuma mutabani we Hadoraamu eri Kabaka Dawudi okumulamusa n'okumukulisa okulwanyisa Hadadezeri n'amuwangula. Hadadezeri oyo yali mulabe wa Toowu. Hadoraamu n'aleetera Dawudi ebirabo ebya buli ngeri, omwali ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'atuma Kadolamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza kubanga alwanye ne Kadalezeri n'amukuba; kubanga Kadalezeri yalwananga ne Toowu; era n'ebintu ebya zaabu n'effeeza n'ebikomo eby'engeri zonna byali naye.