1 Chronicles 18:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabyo kabaka Dawudi n'abisingira Omukama, okufaanana ne ffeeza ne zaabu bye yali aggye mu mawanga gonna: Edomu ne Mowabu, Abammoni, Abafilisitiini ne Amaleki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu byonna ebyaleetebwa, kabaka Dawudi yabiwonga eri Mukama, nga bwe yakola effeeza ne zaabu gye yawamba ku mawanga amalala nga Edomu ne Mowaabu, n’Abamoni, n’Abafirisuuti, ne Amaleki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu byonna ebya feeza ne zaabu kabaka Dawudi n'abinyaga okuva mu mawanga gano: Edomu, Mowaabu, okuva mu baana ba Amoni, Abafirisuuti n'Abamaleki, n'abiwonga eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ebyo Kabaka Dawudi n'abiwongera Mukama, wamu ne ffeeza ne zaabu gwe yanyaga mu mawanga gonna: Edomu ne Mowaabu, mu Baamori n'Abafilistiya, ne mu Amaleki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'ebyo kabaka Dawudi n'abiwonga eri Mukama, wamu n'effeeza n'ezaabu bye yanyaga mu mawanga gonna; Edomu ne Mowaabu n'abaana ba Amoni n'Abafirisuuti ne Amaleki.