1 Chronicles 18:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Abisayi mutabani wa Zeruya yatta Abeedomu omutwalo gumu mu kanaana mu kiwonvu ky'Omunnyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye Abisaayi mutabani wa Zeruyiya yattira abasajja ba Edomu omutwalo gumu mu kanaana mu Kiwonvu eky’Omunnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'atta ku ba Edomu abantu lukumi mu lunaana (1,800) mu Kiwonvu eky'Omunnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abisaayi mutabani w'omukazi ayitibwa Zeruyiya, n'attira mu Kiwonvu ky'Omunnyo Abeedomu lukumi mu lunaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nate Abisaayi mutabani wa Zeruyiya n'atta ku Baedomu mu Kiwonvu eky'Omunnyo lukumi mu lunaana.